About Us

ETAKKA LY'EKANISA

Ebyafaayo kuttaka ly’ekanisa bivira ddala wala nnyo ku Bwoya eyayalanga obuliri  Ssekabaka Kintu e Mugonga. Chwa Nabakka Ssekabaka wa Buganda owokubiri okufanaana nga kitawe Kintu nave yabula bubuzi. Yabulira Luwunga nea ogenda e Kakiri kukasozi akayitibwa Bugumya. Teyaddayo kulabika nate. Abakungu nebateesa okumusikiza mutabaniwe yekka eyali asigaddewo omulangira Kalemera eyali asindikiddwa e Bunyoro kumusango ogwokuliwa olufuubanja.

Kalemera aba akomawo e Buganda nalwala era naafira mukubo e Bulemwa. Nate abaganda bagenda e Bunyoro nebaleeta Omulangira Kimera mutabaani wa Kalemera asikire obwa Kabaka bwa Buganda. Bwe bali bamuleeta ne Katumba eyali amukuma naye yagya naye; era yeyamutuuza neku Namulondo. Katumba mukuva e Bunyoro yagya n’omusawo we Mwenge.

Nga wayisewo ebbanga, nga Katumba ali mulubiri yagamba musajjawe nti, ‘tugende ewaffe ewambaale (kuba Wambaale bwali butlaka bwankima bwadda). Bwebatuuka e Wambaale, Mugema naawe musajjawe akasozi Mpuku kati okuJi e Kanisa y’eBbira. Okuva edda nedda akasozi okuli ekkanisa y’eBbira Besaniya C/U kaayitibwanga Mpuku. Mu 1800 Mugema Katumba bweyasenga e’ Wambale nakawa Omusawo we Mwenge asinzirenga awo okukola emirimugye egy’obufumu.

Mwenge ono ayogerwako, Mugema Katumba yagya naye okuva eBunyoro ng’aleeta Omulangira Kimera. Okuva olwo akasozi ako nekayitibwanga aka Mwenge. Mu mwaka 1900 ekanisa ya Church of Uganda yonna awamu yaweebwa square miles z’ettaka (50sq.miles). kw’ezo Bbira (kukitebe) yafuna 7 acres nga ziri Ssumbwe (Ettaka Iino mu 1980 Iyaweebwa Kavumba Church of Uganda). Nga liwanyisibwa n’awali ekkanisa y’e Kavuma kati ye nadda e Ssumbwe.



 

Ebyafaayo by'ekkanisa y'ebbira ku Kitebe

Kizito Kisingiri (Omuwanika); bebuuza ku Ssaabadiinkoni Ernest Miller owa Uganda, Naivasha, Boga Zaire, Rwanda Burundi ne Sudan, n’abawa amagezi nti ekirabo kyebaba basaba ttaka ly’ekika kya mailo kubanga ebirala byonna biggwawo. Ne Buganda (Uganda okugiyita Protectorate) Ssaabadiinkoni E. Miller yamba nnyo ku nsonga eno. Era eno y’ enso ga emuyisa mukwano gwa Buganda.

Missions zonna awamu zaweebwa Sq. miles 92. Zo Sq. miles 52 zaweebwa Church of Uganda ate Sq. miles 40 neziweebwa Catholics Abakatuliki). Bbira Church of Uganda yaweebwa acres 52 kumpi ne Namayumba (e Ssempya) kw’ezo buli Kkanisa yafuna Acres 7. Kyokka Abaami bagendanga bongera amakanisa ettaka bbo nga bwebaalabanga. Eky’okulabirako, Bbira yafuna Acres 7 (Ssumbwe) ne Buloba nayo Acres 7, Ssentema Acres 10. Ekkanisa ez’emiruka ezisigaddewo Masuulita, Kikandwa, Kavumba ne Namayumba nazo zaafuna buli emu Acres 7.

Ekkanisa eyasooka yazimbwa mu mwaka 1890. Ekkanisa endala zazimbibwanga naye zonna zaalinga za ssubi. Mu 1927 Rev. Yokaana Gyagenda awamu n ‘Abakristaayo abaaliwo mu kiseera ekyo nebatandika okukuba maatofaali emitwetwe w’Ekkanisa ediridde eno eriwo. Ekinnya omwakubirwa nga maatofaali nakati kikyaliwo. Go amazzi gajjibwanga wansi ku luzzi oluli mu kiwonvu ky’Essomero ly’e Bbira. Mu kiseera ekyo Omw. Semyoni Ssendegeya yeyasomesa nga ab’Ebitundu awamu n’ okukola emirimu emirala egy’e Kkanisa.

Mu mwaka 1926 Essomero ly‘e Bbira Iyafuulibwa Central school, olwo Rev. Yokaana Gyagenda n’atwalibwa e Nsangi kuba Iyo Essomero ly’e Nsangi Iyali ku ddaala Iyawaggulu okusinga esry’e Bbira ate nga Rev. Y. Gyagenda yal ku musingi gwa mu na Buddo. Rev. Y. Gyagenda weyagendera e snagi, essomero ly’e Bbira yalireka Iya lwempe. Naye Iyatutumuka nnyo olw’eki ina ky’aba Scout ekyatandikibwawo nga Trou ey’amakumi asatu (30). Government teyayagala tuttumu Iino era n’ewalirizibwa okumenyawo amasomero ga Central School. Mu 1929 Director of Education n’alagira Bbira nga Vernacular Elementary (V.E.) mu kiseera kyekimu (1929) Government amasomero n ‘egajja mu mikono gy’aba Minsani negazibwa mu mikono gya Director of Education Ashe.

Nga tuzeeyo ku by’okuzimba ekkanisa, Omw. Isirayiri yeyazimba ekkanisa mu mwaka 1929 era y’omu yeyazimba n ‘eye Buloba mu mwaka 1931. Mw. Isirayiri ekkanisa eno yagizimbisa qmw.oyo gw’e Kikristaayo kubanga yasasulwa SIG.  zokka zeyasaba. Omulimu gw’okuyoyoota ekkanisa gwaddiriramu emabega owa Gombolola y’e Wakiso Keesi Baganda Nswa bweyalya obwa Katikiro bw’e Tooro, n’agenda n’ensimbi zonna. Owa Gombolola Mumyuka Wakiso, Nasanayiri Kiragga yayamba myo mukukomyawo ssente ezo bsweyakolagana ne District Commissioner (D.C.) w’e Tooro Oluvanyuma nga wayiseewo akabanga ow’e Gombolola OYO y’omu yawola ekkanisa Shs. 800/= ezaagula amabaati olw’okugisereka olw’okutuukiriza ebisenge obutakubwp nkuba.

Obwa Ssabalabirizi bw’ atandikira ku Bishop Brown. Ekkanisa y’e Bbira yatwalibwanga Ttwale ly’e Namirembe era nga Omukulu w’Ettwale yali muzungu kubanga mu kiseera ekyo beebakuliranga Amatwale. Na ba Ssaabadiinkoni nabo abaasooka baali nga bazungu, naye baatwalira nga ddala Obulabirizi bwonna gyebwali bukoma

Bano be ba Ssaabadiinkoni ngp bwebaddirimana:

Rev. Ernest Miller.

Rev. Browcrage (Bulikigya).

Rev. Browers eyava mu Ttwale e Maisndi, yali mubazzi era ebibajje ebisinga mu Luttiko e Namirembe yeyabibaggisa mu muti ogusinga obulungi (Mahogany).

Rev. Daniel eyasimba e Jjinja ku Kkanisa ku Kkanisa y’e Buloba.

Rev. John Herbert.

Rev. Yokaana Biina — Ono ye Muddugau eyasooka okuba Ssaabadiinkoni w’e Namirembe.

Ebyafaayo bya Mwami Gideon Kabenge bikomye wano.