Bitono nnyo ebimanyddwa Mutukuvu Matayo, okujjako nti yali mutabani wa Alufayo, nga osanga yazaalibwa Galilaaya. Omulimu gwe gwali gwa Kuwooza ssente, ekyo kyakyayise omulimu gwe mu biseera bya Kristo. Okusinziira ku byawandiikibwa mu Njiri, Matayo yali akolera ku kumjaanyizo e Kaperenawumu, Kristo n’ajja n’ amugamba nti “Ngoberera”. N’okuyitibwa okwangu bwekutyo, Matayo yafuuka Omuyigiriza wa Kristo.
Okusinziira ku Matayo tumanyi ebikolwa / emirimu Kristo gyeyakola n’ebigambo okusasaanya Enjiri y’ Obulokoziibwe (Kirsto). Enjiri ya Matayo etubuulira ebigambo byebimu ebisangibwa mu Njiri endala, n’olwekyo abanonyereza bakakasa ebigambo ebyo.Ekitabo kye kye’kyoluberebelye mu Njiri ennya ezisooka mu Ndagaano Empya.
Emyaka mingi oluvannyuma lw’okufa kwa Kristo, nga mu 41 ne 50 AD Matayo yawandiika Enjiri mu Aramic nga asuubira okumatiza abantube mu mpandiikaye nti Yesu ye yali Omulokozi; era obwakabakabwe bwatuukirizibwa mu ngeri ya Mwoyo. Bwali bubaka bukulu mu kiseera nga kyenkana buli muntu yali asuubira okudda kw’omulokozi nga awuuba ekitala. Kirowoozebwa nga mu 42 AD yadduka n’ agenda mu nsi endala; yali atoloka ku baali baagala okumutta. Wabula okusinziira ku byogerwa eby’enjamllo, yaddukira. Persia Oba Esiyopiya. Tewali kyawandiikibwa ku nfa ya Matayo. Tetumanyi Oba yafa bulwadde Oba yattibwa nga Omujjulizi.
Oluvannyuma lw’ okuyitibwakwe, Matayo yayita Yesu ku kijjulo mu makage. Abawandiisi n’ Abafalisaayo kino bwebaakiraba baakivumirira nnyo Yesu okulya n’omuwooza n’abantu abalina ebibi. Kino kyasindika Yesu okubaanukula nti: .sajja kuyita batuukirivu wabula abalina abibi (Makko 2:17, (Lukka 5:32)